Return to Index

257

258

KA nkwagale Katond;siyinza

259
SongInstrumental
	

1 KA nkwagale Katond;siyinza Kwerokola lwa kwagala kwange; Kuba-ebibi byange nnakusobya So ne sisaanira mukisa gwo. 2 Naye ggwe-oli wange,nange wuwo; Nze mwonoonyi,ggwe Katonda ddala; Onnyweze kumpi mu kifuba kyo, N'emikono gyo gye baafumita. 3 -Obulumi bwo tebulowoozeka, So tewali mu baana b'abantu Ayinza-okwelesa-obuyinike Newankubadde-ennaku zo zonna. 4 Bye walumwa tebikomezeka, Byonna ku lwange nze-alina-ebibi, Wava ku ntebe y'ekitiibwa kyo, Okumponya-atali mulongoofu. 5 Yesu,siiremenga kukwagala -omulokozi,nga bwe wanjagala; Ggwe kennyini so si birabo byo, Ggwe njagala obutayosaawo.,