Return to Index

258

259

MU biro-eby'ennaku

260
SongInstrumental
	

1 MU biro-eby'ennaku Yesu-onnyambenga Nneme-okugwa wansi, Nga nkwerabidde. Bwe mba mbuusabuusa, Ontunuulire, Ompanirirenga Olw'amaanyi go. 2 Enkwe za Ssetaani Ze zinnumba-ennyo, Obugagga-obw'ensi Businza-omwoyo Ka njijukireggwe Eyafiirira: Ggwe-oli kigo kyange Mwe neekweka nze. 3 Yesu bw'onoobanga Onkangavvula, Byonna-ebijja ku nze Ka mbikkirize; Neewaayo nze gy'oli Ndi wuwo wekka, -Ontukuze,ombeere, Ennaku zonna. 4 Mu ntalo-ez'entiisa Nkwesiga wekka Bwe ndinafuwala, Ojjanga gye ndi; Omubiri gwange Ne bwe gulifa, -Onzuukize mu bafu Nze-akweyabiza.