Return to Index
259 |
260
KITAAWE wa bonna-eri ggwe
|
261 |
Song | Instrumental |
|
|
1 KITAAWE wa bonna-eri ggwe,
Tuyimusa-emitima gyaffe:
Ku bwa Yesu,lye-ekkubo lyaffe
Eritutuusa mu maaso go;
Ofuke emikisa gyo
Ku ffe abafukamidde.
2 Kitaawe wa bonna-eri ggwe,
Tuyimusa emyoyo gyaffe,
Abeenenyezza-ebibi byaffe,
Abatamanya kukutenda;
Otujjuze Omwoyo wo,
Tukuyimbire-amatendo.
3 Kitaawe wa bonna-eri ggwe,
Tukuleetera-okutya kwaffe,
Okutalabibwa bannaffe
Naye okumanyibwa gy'oli;
Otukwate ku mukono
Tulemenga okubungeeta.
4 Kitaawe wa bonna-,otuwe,
Okukutenderezanga-ennyo;
Tusanyukirenga Mukama
Ffe abantu be-abalokole.
Mu biro byonna-otulage
-Ekkubo-eddungi-eridda gy'oli.