Return to Index

260

261

ZUUKUKA mwoyo gwange

262
SongInstrumental
	

1 ZUUKUKA mwoyo gwange, Katonda-akusembeza, Taakugobere bweru, Akwagalira ddala. 2 Gw'osaba ye Kabaka Omuyinza wa byonna, -Okumukooyesa teri Olw'ekisa kye-ekingi. 3 Yesu,sooka-ontikkule Omugugu ogw'ebibi, Ogunzitoowerera, Gwe sijja kusobola. 4 Mu musaayi-ogwayiika Edda ku musaalaba; Ku lw'abalina-ebibi, Yesu,-onnaalize ddala. 5 Nkooye nnyo,ompummuze Weemale-omwoyo gwange, Njagala-Omulokozi Anammalamu-ebibi. 6 Bwe ntyo bwe nkuyimbira Bulijjo ettendo lyo; Abakwesiga wekka, Baliraba-ekisa kyo