266 |
267KATONDA-onsembezw |
268 |
Song | Instrumental |
1 KATONDA-onsembezw Kumpi naawe, Ne bwe ndikwatibwa -Obuyinike. Neeyongerenga-era Okusemberera -Okumpi naawe. 2 Obudde-obw'obulamu Buwungeera: So siraba n'omu Anambeera, Nga nkwegayirira Olw'ekyo,sembera -Okumpi nange. 3 Kale-okwolesebwa Kuve-eri ggwe; Era-awalinnyibwa Walabike. Nga bamalayika Bampenyezza-okujja -Okumpi naawe 4 Kyenva nsanyukira Ekisa kyo, Kubanga-owulira Omuddu wo Katonda tondeka, Nga mbulubuutira -Ewala naawe. 5 Edda ndiyingira Wa Kitange; Nga nkomekkereza -Emgendo zange. Ekirinsanyusa Yesu,kubeerera -Awamu naawe.