Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 YESU eyasooka
Okutwagala;
Saasira-obunafu
Bwaffe-abaddu bo.
2 Yesu ggwe muteefu
Ggwe muwombeefu;
N'obuvumu bungi,
Ffe tujja gy'oli.
3 Naye tuli bayi,
Ffe tuyidde nnyo:
Era-ebibi byaffe
Bituyinze nnyo.
4 Ggwe Ayinza-byonna,
Otuwe-amaanyi
Okuwangulanga
Mu kukemebwa.
5 Tuli bagayaavu;
Ggwe munyiikivu
Tuwe-fenna-amaanyi,
Okunyiikira.
6 Tuli banafu nnyo,
Ggwe-oli wa maanyi;
Otunywerezenga
Mu mazima go.
7 Ggwe mubeezi waffe,
Otuzibire
Eri omulabe
Eri omulabe
Waffe Ssetaani.
8 Tukweyanza Yesu,
Ggwe-atujuna-ennyo:
Otuwe Omwoyo
Omutukuvu.