Return to Index
270 |
271
KATONDA eyantonda nze
|
272 |
Song | Instrumental |
|
|
1 KATONDA eyantonda nze
Mu mubiri-omwangu;
Ndyoke nnyinze-okusobola
-Okutambula wonna;
Singa mbuliddwa-amagezi,
Naye mujjukira
Mu mutima ogw'essanyu
Ng'omwana omuto.
2 Yesu Kabaka, Mukama;
Ompe-ekitala kyo
Ekyangu era ekyogi
Nnwanyise-abalabe;
Ndyoke mbawangule abo,
Era nkuweereze
-Emisana era n'ekiro,
Mbeerenga-omusajja.
3 Omwoyo ogw'amazima
Oguwa-omubiri
-Essanyu mu kifo ky'ennyombo,
-Omusana-omulungi;
Amagezi nga gambuze
Ojje embeerenga;
Ompe ekirabo kino
-Otwale-omwoyo gwange.