Return to Index
271 |
272
KITAFFE-atwagala fenna
|
273 |
Song | Instrumental |
|
|
1 KITAFFE-atwagala fenna,
-Oyambenga-abaana bo;
Bakuumenga-ennaku zonna
-Obusika-obulungi.
2 Twetikke-omusaalaba gwo
N'obwesigwa bwonna;
-Amazima gobunenga
Mu mawanga gonna.
3 Tuwe twegenderezenga
Tube balongoofu;
-Essaddaaka-ey'obuntu bwaffe
Esiimibwe gy'oli.
4 Tuwe okwesiganga ggwe,
-Omulamuzi waffe;
-Ensonyi n'entiisa bireme
Kutukwata fenna.
5 Tuwe-amaanyi n'obuvumu
Ebituyinzisa
-Okuyamba bonna-ab'ennaku
N'obutabajooga.
6 Tuwe-okusonyiwagana
N'okwagala bonna;
Tube n'essanyu lingi nnyo
Eriva eri ggwe.