Return to Index

272

273

MUKAMA waffe-ow'ekisa

274
SongInstrumental
	

1 MUKAMA waffe-ow'ekisa, Tusonyiwe fenna; -Ebirowoozo-ebitukuvu N'empisa ezisaanira -Otujjuzenga fenna. 2 Ku nnyanja,abtume bo Baakuwuliranga; Fenna fenna tusituke Era tukugoberere Amangu nga bali. 3 Tujjukira ennyanja eyo N'ensozi ennungi; Yesu kwe yafukamira Ng'asba-eri Katonda we Atwagala fenna. 4 Otereeze-emyoyo gyaffe Ennaku ziggweewo; -Emitima nga giteredde gijjukire-emirembe gyo Egitasingika. 5 Era okwegomba kwaffe Kumalibwe mu ggwe; Eby'omubiri n'eby'ensi Bisirike,tuwulire, By'oyogera naffe.