Return to Index

274

275

WULIRA-okusaba kwange

276
SongInstrumental
	

1 WULIRA-okusaba kwange Okw'omwana wo-omuto nze, Fuka ebirabo byo, Fuka ku nze bulijjo: Ssasira-omunafu bwange Obw'omwana wo-omuto nze Saasira-omunafu nze; Nsaasiranga bulijjo. 2 Sonyiwa-ebyonoono byange Ng'obinaaza n'omussayi- -Ogw'Omulokozi Yesu; Nsonyiwanga bulijjo, Ne mu maanyi ga Ssetaani; Lokola omwoyo gwange; Lokla omwaoyo nga nsaba ggwe, Ndokolanga bulijjo. 3 Kkiriza omwoyo gwange Gwe nkuwadde-okugukuuma; Nsanyuse n'ekisa kyo, Nsanyusanga bulijjo: Plw'obwesigwa bwo bwonna, Ayi Katonda,onnyambenga; Mbeere gy'oli omwesigwa. Onnyambenga bulijjo.