275 |
276AYI Kitaffe-ow'omu ggulu |
277 |
Song | Instrumental |
1 AYI Kitaffe-ow'omu ggulu Leero twewaayo gy'oli; Mu nsi eno-ejjudde-ennaku Kuuma-obulamu bwaffe Tewali mubeezi yenna Wabula ggwe Kitaffe. 2 Ayi Mukama waffe Yesu, Tusaba-otusonyiwe Kubanga-obunafu bwaffe Gggwe-obumanyidde ddala; Omanyi bwe buli-obungi Otusnyiwe Yesu. 3 Naawe-Omwoyo-Omutukuvu Kka leero mu nda zaffe Tujjuze okwagala kwo Okw'enkalakkalira, Tunaabeera n'emirembe, Ng'otusonyiwa-ebibi.