Return to Index
280 |
281
YESU leero nkukoowoola
|
282 |
Song | Instrumental |
|
|
1 YESU,leero nkukoowoola
Ombeere nkwegayirira,
Obulokozi bwo ndaga;
Mala gasenza nze:
Mala gasenza nze:
Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
Mala gasenza.nze
2 -Obujeemu bwange n'obubi,
Ggwe-omanyi ddala bwe biri:
Ka nkwesige ggwe bwesizi;
Mala gasenza nze:
Mala gasenza nze:
Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
Mala gasenza.nze
3 Siyinza kweteekateeka,
Siyinza kwegendereza;
Olw'erinnya lyo ndokola:
Mala gasenza nze:
Mala gasenza nze:
Omusaa(yi) gwokka gwe neesiga:
Mala gasenza.nze
4 Nze nkuvuunamidde leero
Neewaayo mu mikono gyo:
Mukama,nze ndi muddu wo:
Yesu nkusenze ggwe:
Yesu nkusenze ggwe:
(O)musaa(yi) gwo gwe gundokodde:
Yesu nkusenze ggwe.