281 |
282YESU njija gy'oli |
283 |
Song | Instrumental |
1 YESU njija gy'oli, Nga nsuubira, Nkufukaamirira, Nga nkwesiga; Njijudde nnyo-ebibi, Naye kye mpoza nti: Wanfiirira. 2 Mukama njatula Ebyonoono; Ne nkubikkulira -Ebibi byange. Jjangu onnongoose Onnalize ddala, Ontukuze. 3 Yesu-otusonyiwe Ggwe-omwesigwa Laba,nfukamidde Mu maaso go. Onnaze mu musaayi-, Ggwe-Omwana gw'endiga Wa Katonda. 4 Ne nyoka nsanyuka Nga ndokose, Nze ne ntambulira Wamu naawe. Ne bwe ndizirika, Ggwe-olimpanirira Nneme-okugwa.