Return to Index

282

283

ONNUMIRIZE olw'ebibi

284
SongInstrumental
	

1 -ONNUMIRIZE olw'ebibi Mwoyo Mutukuvu; Eby'omu bulamu bwange Byerulibwe mangu. 2 Yesu amaanyi ebyama, N'esulo-ez'omu nda Ez'ebirowoozo bynge, Ozimbikkulire. 3 Onjakize-omusana gwo, Ommulise mu nda, Ommanyise-ebibi byange Byonna-ebikisibwa. 4 Naweerezanga Ssetaani, Mu nnaku ez'edda; Ekisa kyo kye kyansenza; Yesu anjagla. 5 Bwe ntyo bwe ndifukamira Mu maaso ga Yesu, Naakwebalizanga ddala, Nga neewombeese nnyo