Return to Index

295

296

OMPISE Mukama

297
SongInstrumental
	

1 OMPISE,Mukama, Okujjanga gy'oli, Onnanze n'omusaayi gwo Ogusinga byonna. Ka njije,Yesu;ka njije gy'oli: Nnaaza,nnaaza n'omusaayi 2 Nange ndi munafu; Omubi-omwereere: Ajja gye ndi simugoba Bwe bwesige bwange. Ka njije,Yesu;ka njije gy'oli: Nnaaza,nnaaza n'omusaayi 3 Yesu,wanfiirira Nze alina-ebibi Okwagala kumpaludde, Laba,nzize gy'oli. Ka njije,Yesu;ka njije gy'oli: Nnaaza,nnaaza n'omusaayi 4 Katonda Kitaffe, Katonda Omwana, N'Omwoyo Omutukuvu, Tweyanze bulijjo! Ka njije,Yesu;ka njije gy'oli: Nnaaza,nnaaza n'omusaayi