Return to Index

296

297

BYE tukuwa biva gy'oli

298
SongInstrumental
	

1 BYE tukuwa biva gy'oli, Newankubadde nga bingi; Bibyo byonna bye tulina, Birabo by'otuteresa. 2 -Otuwe-ekisa tubeerenga -Abawanika bo-abeesigwa; Nga twesolooza n'omwoyo Ku bintu bye tuli nabyo. 3 -Amawanga gonna-ag'omu nsi Geetaaga nnyo-Omulokozi Abantu be yafiirira Bawaba-era basaasaana. 4 Gy'emirimu gyaffe fenna, -Okukomyawo abakyama; -Okunoonya-ababula,era -Okujjanjaba-abafiiriddwa. 5 Bw'atyo Yesu bwe yakola, Ne yeewaayo-okubawonya; Naffe tumugoberere, Aboonoonyi balokoke. 6 Yesu otuyigirize, Ebyo bwe bikukolerwa; Fenna-otunyiikize wonna -Okugoba n'okwesolooza