Return to Index

298

299

YESU wanfiirira mu kwagala kwo

300
SongInstrumental
	

1 YESU wanfiirira mu kwagala kwo, Nnyinza ntya okukumma by'onooyagala? Byonna mbikuwa ggwe,ka nfuuke-omuddu wo, Obuddu ggwe gy'oli lye ddembe ddala. 2 Ku ntebe-ey'ekisa ompolereza, Ompe-emirembe gyo Yesu nkwesiga; Ka mbuulire wonna ettendo lyo lyonna, Mu bulamu-,mu kufa,bw'onondokola. 3 Kye njagala kyokka kukufaanananga, Nzire mu kkubo lyo nga nkuweereza; Emirimu gyange gyonna gikolebwe, Okwebazanga ggwe eyanjagala.