Return to Index

306

307

YESU sikyali ku bwange

308
SongInstrumental
	

1 YESU,sikyali ku bwange, Nze ndi muddu wo buddu; Nali mu nsi ya Ssetaani N'ojja n'oginziyamu. Muddu wo,muddu wo: Yesu,nze ndi muddu wo. 2 Obulamu bwange bwonna Mpaayo mu mikono gyo; Ggwe-olinkuuma n'okutuusa Olintuusa ewuwo. Muddu wo,muddu wo: Yesu,nze ndi muddu wo. 3 Era mpaayo-ensimbi zange N'ebintu byange byonna; N'ekitiibwa n'emikwano, Leero byonna mbiwa ggwe. Muddu wo,muddu wo: Yesu,nze ndi muddu wo. 4 Omubiri gwange gwonna, Ebigere n'engalo; N'amagezi gange gonna, Byonna byonna bye bibyo. Muddu wo,muddu wo: Yesu,nze ndi muddu wo. 5 Nsanyuse,Yesu andeeta Mu ggye ly'abatukuvu; Be baweereza Katonda, Be batuuka mu ggulu. Muddu wo,muddu wo: Yesu,nze ndi muddu wo.