Return to Index

307

308

GGWE kwagala kwa Katonda

309
SongInstrumental
	

1 GGWE kwagala kwa Katonda Tomanyika bukulu bwo, Nze nnyimiridde-ewala-ennyo Nga mkufumiitirizaako; -Obuyinike bunjijudde -Okutuusa lw'olimpummuza. 2 Wampita-edda lwa kisa kyo N'olyoka-empa-emirembe gyo Naye bwe mba nkyatambula Mu mpisa-enkyamu ez'ensi, Emirembe-egyo gimbula Ndituuka ddi-okuwummula? 3 Kyonna,kyonna-,ekigezaako -Okunfuga leero mu mwoyo Nsaba nti Okimmalemu Okisse ku musaalaba; Nneme-okwegomba-eby'abantu -Omwoyo gunywerere ku ggwe. 4 Buli kaseera nkusaba Weeyongere-okumpalula; Byonna mbireke,wabula Ebiva mu bulungi bwo; Njijule-ebyo by'ontonera N'okusinga okwagala.