Return to Index

308

309

TWETAAGA Yesu:Yesu so si mulala

310
SongInstrumental
	

1 TWETAAGA Yesu:Yesu,so si mulala Ekisa kye kinaatumala ffe. Twetaaga Yesu: tugobe Ssetaani Ng'atusemberera mu ttima lye. 2 Twetaaga Yesu:Yesu Musaale waffe Mu nzikiza mwe tutambulira; Nga tumweyabiza,tulaba-essanyu; Ye ngabo yaffe,gye twambalira. 3 Twetaaga Yesu:Olwazi lw'emirembe; Katonda kwe yatuyimiriza; Nga tumulaba,tetuwunjawunja, So tetubaako kyonna kye tutya. 4 Twetaaga Yesu:mu biro by'okulumwa; Tewali-amwenkana-okusaasira; N'okutuwa n'atuwa obutamma Amaanyi ge agatuwanguza. 5 Twetaaga Yesu:nga tufiiriddwa-abantu Be twagala-,abeebakira mu ye: Atukubagiza ne tutakaaba, Nga tulowooza ku bigambo bye. 6 Twetaaga Yesu:anaatuukirizanga Buli kye twetaaga-olw'ekisa kye; Tuweebwa-obutuukirivu ku lulwe, Nga tuyima mu ye tulokola.