Return to Index

309

310

AYI Katonda onnumggamye

311
SongInstrumental
	

1 AYI Katonda,onnumggamye Okumpisa mu ddungu; Ndi munafu:ggwe w'amaanyi, Nnyweza mu mikono gyo. Ggwe-oli mmere y'omu ggulu, Ondisenga,nzikute. 2 Omusaayi gwo-ogunaaza Gunnaaze,guntukuze; Empagi ey'omuliro Ggwe Mubeezi ow'amaanyi Onkuume n'engabo yo. 3 Bwe ndituuka ku Yoludaani Ombeere nneme-okutya. Ggwe-eyawangula okufa Ontuuse mu kanani. Nnyimbe-ennyimba-ez'amatendo Bulijjo nga ndi naawe.