Return to Index

310

311

OMWOYO gwange wulira-amaloboozi

312
SongInstrumental
	

1 -OMWOYO gwange,wulira-amaloboozi, Ba-malayika be nga basuuta; Nga batenda-obulungi bwe obungi, N'obulamu obw'olubeerera. Mmwe bamalayika abaddu be, Mutwanirize ffe abatambuze. 2 Kale tugende nga tuwuliriza, -Ennyimba zaabwe,Yesu ng'atuyita; Tuyite mu nzikiza y'ensi eno, Enjiri ye ng'etukulembera. Mmwe bamalayika abaddu be, Mutwanirize ffe abatambuze. 3 -Eddoboozi lya Yesu likoowoola nnyo Nga liva-eri waggulu gy'atudde; Nga lituuka eri abantu bangi, -Abanafu n'abazitooweredwa. Mmwe bamalayika abaddu be, Mutwanirize ffe abatambuze. 4 Bwe tulituuka mu ggulu gy'abeera, Ennaku z'omu nsi zirikoma: Tulibeera mu ssanyu ejjereere. Nga tutendereza-Omulookozi Mmwe bamalayika abaddu be, Mutwanirize ffe abatambuze. 5 Mmwe-ab'omu ggulu,bamalayika be, Mutuyimbire-ennyimba ez'essanyu; -Okutuusa olunaku olwo-olukulu -Obuyinike bwonna lwe buliggwaawo. Mmwe bamalayika abaddu be, Mutwanirize ffe abatambuze.