Return to Index

311

312

BWE tutambulira awmau ne Yesu

313
SongInstrumental
	

1 BWE tutambulira awmau ne Yesu Mu musana ogw'enjiri ye, Tubeera mu kkubo ery'ekitiibwa kye Wamu n'abeesigwa be boona. Mugondere era omwesige, Tewali kkubo ddala Erireet(a) essanyu. 2 Ebisiikirize n'ebire biggwaawo Okutya n'okubuusabuusa; Era n'amaziga nago tegabaawo Eri abeesigwa be boona. Mugondere era omwesige, Tewali kkubo ddala Erireet(a) essanyu. 3 Obubi n'ennaku abitwetikkira, Atuggyako n'obuyinike; Ebituganya obikomerere Singa tukwesiga ggwe Yesu. Mugondere era omwesige, Tewali kkubo ddala Erireet(a) essanyu. 4 Tetunnakakasa kwagala na ssanyu Fenna bye tulibeera nabyo, Okutuusa Yesu lwe tulimulaba Wamu n'abeesigwa be bonna. Mugondere era omwesige, Tewali kkubo ddala Erireet(a) essanyu. 5 Tu libeera naye,tulituula naye Tulitambula wamu naye By'anaatugambanga tunaabikolanga, Kino kyokka tumwesiga ye. Mugondere era omwesige, Tewali kkubo ddala Erireet(a) essanyu.