Return to Index

312

313

NG'EMPEEWO bw'ewejjawejja

314
SongInstrumental
	

1 NG'EMPEEWO bw'ewejjawejja. Olw'amazzi-ewummule Abayizzi gye bagoba -Ewala nnyo mu kibira, Bw'atyo omutambuze Ye bw'awejjawejjera Ggwe,amazzi g'obulamu, Ggwe,omugga-ogutaggwaawo. 2 -Emmeeme yange-erumwa-enjala Ku lw'Oyo-Omutukuvu, -Emmere yange ge maziga Emisana n'ekiro; Abayigganya bonna Nga banvuma-edda n'edda Nti -Omulokozi yeekweka. Ali ludda wa Katonda? 3 Kiki-ekikukutamizza, Ky'ozitoowereddwa ggwe? Kiki,ggwe emmeeme yange, -Ekikweraliikiriza? Weesige-Omulokozi Bulijjo-weeyanze nnyo; Sanyusanga-omuzira wo, Suubiranga-eri Katonda