Return to Index

313

314

MUJJE mwekka kyama muwummule

315
SongInstrumental
	

1 MUJJE mwekka kyama muwummule, Nange,mu kifo eteri bantu, Emitawaana gibayinzeeko, Oluyoogaano lubakooyezza. 2 Muleke byonna-ensi by'yagala, Munoonye-ebitanoonyezeka nsi, Awamu nange-era ne Kitange So temuli mwekka,tuli nammwe. 3 Mumbuulire byonna bye mukola, Bye mwogera-era bye muwangula, Mu nnaku zammwe bwe mulemeddwa, Bimanyibwa-Atakisika byama. 4 Ekkubo lya wala,muwummule, Olugendo lunaabazirisa; Mutoole-emmere-eva gye ndi mulye, -Amazzi ag'obulamu muganywe. 5 Ate mudde ku mirimu gyammwe, Muli banafu,naye ndi nammwe; Omwesigwa-aliweebwa-empeera ye, Njija mangu emmambya esaze.