Return to Index

314

315

KWATA-omukono gwange ndi munafu;

316
SongInstrumental
	

1 KWATA-omukono gwange,ndi munafu; Sirina maanyi,nafuwadde nnyo. Naye bw'onkwata,siriiko kye naatya. Naasobolanga byonna-eby'entiisa. 2 Mulokozi,kwata-omukono gwange, Onsembeze kumpi n'omwoyo gwo Enzikiza-ekutte,onjakire nze, Nneme-okukyamanga mu kkubo lyo 3 Kwata-omukono gwange,ggwe-otegeera, Enkwe n'obulimba bwa Ssetaani; Bw'obeeera nange naafuna-emirembe, Naatambulanga n'essanyu lingi. 4 Kwata-omukono gwange,mu bulwadde, Nga nzirika nga sissa mukka nnyo; Onsomose-omugga-ogw'okufa kwange Ontuuse gy'oli-olwa ssaddaaka yo.