315 |
316OTUKULEMBERE |
317 |
Song | Instrumental |
1 -OTUKULEMBERE Mu kkubo lyaffe; Yesu tujja kwanguwako Okukugobereranga; Kwata-omukono -Otutuuse-ewuwo! 2 Mu buyinike Ka tugumenga Newankubadde nga tuli Mu kabi kanene katya, Tujjukirenga Ggwe watusooka. 3 Bwe wanajjanga, -Ekigambo kyonna Ekirumya-emyoyo gyaffe Ekimalamu amaanyi, Yimusa-amaaso Tukulabenga. 4 Tulongooseze -Olugendo lwaffe; Tulagirirenga-ekkubo, Tuwe-entanda y'omu mwoyo, N'oluvannyuma -Otutuuse-ewuwo.