316 |
317ABATAMBUZE bayita |
318 |
Song | Instrumental |
1 ABATAMBUZE ,bayita Mu kiro ek'ennaku, Nga bayimba eby'essuubi Nga bagenda mu ggulu. 2 Tewali kutya nzikiza Baakirwa omusana; Bakwatagana mu ngalo Ne gubakulembera. 3 Abalonde ba Katonda, Atuwa-omusana gwe -Okutubeera mu lugendo, Twekkaanye-ekkubo lyaffe. 4 Ffe tugenderera kimu N'okukkiriza kumu; Katonda fenna atuwa -Essubi limu eddamu. 5 Tulina-oluyimba lumu Nga tulwanyisa-ebibi; Olugendo lwaffe lumu Omusaale ye Yesu. 6 Okwesiima kwaffe kumu Bwe tulituuka gy'ali; Gy'afuga mu kwagala kwe, Kitaffe fenna omu.