1 KINO kye nsiima-ennyo
Bwe nkirowoozaako,
-Okusembera-okumpi
N'okufa nga sitya.
2 Buli kiro mmala
Ebbanga mu kkubo;
Eririntuusa-eyo
Ewaffe mu ggulu.
3 Siriiko kye ntya nze
Mu lugendo luno,
Gye mgenda mu ggulu
Kitange gy'abeera.
4 Byonna ndibiraba
Bye nasomangako,
-Abatukuvu bonna
Abankulembera.
5 Ne bamalayika
Nga bakuba-ennanga,
Era ne Katonda,
Mukama w'obulamu-.
6 Namuwammantira
Mu nzikiza-ey'ensi;
Yanzaawula,era
Mu kufa-alimponya.