1 BWE ntambulira mu kkubo,
Yesu ankulembera;
Nnyinza-ntya-okubuusabuusa
Ye bw'antwala bulijjo?
2 Byonna ebibaawo ku nze
Tebiyinza kunnuma;
Yesu ye Mukuumi wange,
Ye angabira-obulamu-
3 Abalabe-abalinnumba
Ye alibawangula;
Era-alintuusa n'essanyu
Lingi mu mirembe gye.
4 Enjala bw'eba nga-ennuma,
Andiisa ku mmere ye;
Era-ampozaawoza mangu
Ng'ampa-amazzi-ag'obulamu-
5 Yesu Mulokozi wange,
Eyanfuula-omuddu wo;
Ka nkutendereze bwe ntyo,
Emiremb-egitaggwaawo-.