Return to Index

321

322

YESU-Omulokozi otuulire

323
SongInstrumental
	

1 YESU-Omulokozi,otuulire -Amaloboozi gaffe nga tuyimusa. Tukuwadde-ebyaffe,tukusenze ggwe. Kkiriza-emibiri n'emyoyo gyaffe. 2 Mu kkubo-ery'okufa,twali tubula; Nga tubulubuuta mu kizikiza; Naye watuwonya gye twakyamira Mu lukoola-ewala,n'otulokola. 3 Kaakano twamgganga okujja gy'oli, Kye kisa kyo kyokka ekitusembeza; Watununula ffe-abalina ebibi, N'otufuula-abaana,ne tukwebaza. 4 Bulijjo ekisa nga kyeyongera Ebigenda-okujja tebisingika; Eyo gye wagenda-okuteekateeka Eby'omu ggulu ebitamanyika. 5 Kale nno bannange tugende fenna, N'obugumu bungi mu kkubo lyaffe; Yesu ye Musaale,akulembera; Mu bukoowu bwaffe atusanyusa.