Return to Index

322

323

OMUTAMBUZE ng'akooye

324
SongInstrumental
	

1 -OMUTAMBUZE ng'akooye Bw'alengera-ekisulo kye,[ennyo, Newankubadde nga wala, Omwoyo ne gumuddamu. 2 -Omukristaayo era bw'atyo; Bwe yeddamu omwoyo gwe, Bw'alaba-olw'okukkiriza, Ekifo kye eky'omu ggulu 3 Ensi-eyo emusanyusa, So takyakaabira bya dda; So n'eby'okujja tabitya, Kasita alituuka eyo. 4 Naabeeranga eyo ne Yesu; Bw'agamba bw'atyo;ennaku Zirinvaako,n'amaziga, Katonda-aligasangula. 5 Yesu,tukwesiga wekka, Otukulembere gy'oli; Ne bwe tukoowa mu kkubo, Ggwe-olitusanyusa-ewuwo.