Return to Index

324

325

BULIJJO bulijjo

326
SongInstrumental
	

1 BULIJJO,bulijjo, Sooka-omulimu ku nkya; Nyiikira,beeera muteefu, Tambula mu bwesigwa, Saanira n'okolera nnyo Mpeera yo-ey'obutuukirirvu, Bulijjo,bulijjo. 2 Bulijjo,bulijjo, Ddayo-eka wo ekiro Omubiri gwo longoosa, Lya emmere ya leero Era weebake-otulo two, Nga bwe kikusaanidde ddala; Bulijjo,bulijjo. 3 Bulijjo,bulijjo; Jjukira Katonda wo, Bw'akulembera,bw'akuuma Amakubo go gonna; Era jjukira-okusaba N'okutendereza-erinya lye, Bulijjo,bulijjo.