Return to Index

325

326

ABANTU ba Yesu abalokole

327
SongInstrumental
	

1 ABANTU ba Yesu abalokole, Abalaba-ekisa,era-ab'eddembe: Tuli baddu b'ani? Tuli ba Yesu; Twali ba Ssetaani,ne tusenguka. 2 Yesu be yalonda,be yanunula, Baana ba Katonda,ab'emmeeme empya; Tuli baddu b'ani? Tuli ba Yesu; Twali ba Ssetaani,ne tusenguka. 3 Tuli ba kika kye,ab'omu nnyumba, Baana mu kisa kye,talituboola. Tuli baddu b'ani? Tuli ba Yesu; Twali ba Ssetaani,ne tusenguka. 4 Kiki-ekyatufuula ffe-abalwanyi be? Yesu yatugula n'omusaayi gwe. Tuli baddu b'ani? Tuli ba Yesu; Twali ba Ssetaani,ne tusenguka.