Return to Index
326 |
327
YESU Mukama wange Neesiga-amaanyi go;
|
328 |
Song | Instrumental |
|
|
1 YESU Mukama wange, Neesiga-amaanyi go;
Sitya balabe bange
Ne bwe bannumba.
Bw'onkuuma-ennyo-olw'ekisa,
Siriiko kye ntidde;
Mu ngalo za Kitange,
Mwe mpummulira.
2 Ssetaani bw'aba-annumba N'ettima lye-eringi;
Buli lw'ajja-okunnumba
Nenziramu bwe nti:
Weegendere Ssetaani,
Yesu yakusinga;
Nali nkusenze edda,
Ne nkusenguka.
3 Omulokozi Yesu, Tewali ayinza
Okutusikula ffe
Mu mikono gyo;
Alituloopa ye-ani?
Ggwe watununula;
Wawangula Ssetaani,
Tetukyamutya.