1 EDDA nali mbuusabuusa,
Mu bigambo bya Yesu;
-Oluusi ssanyu,-oluusi nnaku,
Oluusi kukanakana.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
2 Yampita okusembera,
N'okuleka okutya;
Bwe namala nze-okwewaayo
Emirembe n'agimpa.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
3 Leero sikyabuusabuusa
-Okwesiga ye kumala;
Yesu antwala bulungi,
Era-ankuuma mu bubi.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.
4 Bulijjo ankuuma-omwoyo
Mbeerenga wa maanyi nnyo;
Era ne mmutendereza,
Ye Mulokozi nnyini.
Emirembe gya Yesu
Gye ginsanyusa leero:
Era ye wa maanyi nnyo-
Mwesize ye bwesizi.