Return to Index

346

347

EBINT(U) ebirungi (e)nnyo

348
SongInstrumental
	

1 EBINT(U) ebirungi (e)nnyo Ebitonde byonna Byonna ebyewuunyisa Byatondwa Katonda. 2 Ebimuli ebyaanya Ye yatinda langi Obunyonyi-obuyimba Buyinza-okubuuka. Ebint(u) ebirungi (e)nnyo Ebitonde byonna Byonna ebyewuunyisa Byatondwa Katonda. 3 Ensozi ez'omuddo Omuli n'emigga, Enjuba-egwa n'evaayo -Eggulu litangaala. Ebint(u) ebirungi (e)nnyo Ebitonde byonna Byonna ebyewuunyisa Byatondwa Katonda. 4 Empewo eya ttoggo, -Omusana gw'ekyeya, Ebibala-ebyengera, Byonna yabitonda. Ebint(u) ebirungi (e)nnyo Ebitonde byonna Byonna ebyewuunyisa Byatondwa Katonda. 5 Ensenyi n'ebibira, -Ensuku n'ennimiro; Biyiriro by'emigga N'ebifo-ebirungi. Ebint(u) ebirungi (e)nnyo Ebitonde byonna Byonna ebyewuunyisa Byatondwa Katonda. 6 Tulaba,twewuunya nnyo Ne tutendereza Omuyinza wa byonna Eyatonda bw'atyo. Ebint(u) ebirungi (e)nnyo Ebitonde byonna Byonna ebyewuunyisa Byatondwa Katonda.