Return to Index

349

350

KATONDA tusiibule nno:

351
SongInstrumental
	

1 KATONDA tusiibule nno: Kkiriza-ettendo lyaffe Sonyiwa bonna-abeenenya, Abakweka ttalanta; Tulemenga Okunyiiza-Omwoyo wo 2 Otubeere tulemenga Okwesanyusa fekka; Tukuza essanyu lyaffe Mu kuwummula kwaffe: Naawe beera Ssanyu lingi gye tuli. 3 Byonna bye tuyize wano, Bituukirze mu ffe; Naye byonna-ebitasaana, Otwerabize mangu: tunoonyenga Amagezi-amalungi. 4 Ayi Kitaffe-obukuume Abatalidda nate; -Ebiro byabwe-eby'okusiga Bireete-okukungula, Abalidda Bakolenga n'amaanyi.