Return to Index

358

359

WULIRA okusaba kwange

360
SongInstrumental
	

1 WULIRA okusaba kwange Okw'omwana wo-omuto nze, Ekisa kyo okimpenga, Bulijjo,bulijjo. 2 Saasira-obunafu bwange Obw'omwana wo-omuto nze; Ekisa kyo okimpenga, Bulijjo,bulijjo. 3 Sonyiwa-ebyonoono byange, Ng'obinaaza n'omusaayi, Ogw'Omulokozi Yesu, Bulijjo,bulijjo. 4 Ne mu maanyi ga Ssetaani, Lokolanga-omwoyo gwange; Wulira-okusaba kwange, Bulijjo,bulijjo. 5 Kkiriza omwoyo gwange Ggwe nkuwadde-okugukuuma; Nsanyusanga n'ekisa kyo, Bulijjo,bulijjo. 6 Olw'obwesigwa bwo bwonna Ayi-Katonda Onnyambenga; Mbeefe gy'oli omwesigwa, Bulijjo,bulijjo.