Return to Index

359

360

YESU Mukama wange Laba nze

361
SongInstrumental
	

1 YESU,Mukama wange, Laba nze ndi muddu wo; Saasira-obuto bwange Njagala-okujja gy'oli. 2 Mwana gw'endiga,Yesu, Naawe wafuuka-omwana, Bwe ndowooza-ekisa kyo, Njagala-okukulaba. 3 Ontegeeze bulijjo Ebinsaanidde byonna, Nnyiikirenga okukula-Nga nkufaanana Yesu. 4 Era n'obuwombeefu, Bonna ka mbaweereze; Era okwagalana-ennyo Ka ndagenga bulijjo. 5 Ekyo ndikiyinza ntya? Nga nkusaba bulijjo Ggwe-ateesanyusa mu nsi Ggwe nnannyini bulungi. 6 Bwe ntyo bwe naayinzanga-Okukuweereza Yesu; Bonna-abantunuulira Bandabe nga-omuddu wo. 7 Bwe ntyo bwe naasanyusa Katonda ow'okwagala Nga mugulumiriza Mu mirimu gye nkola.