360 |
361YESU Musumba wange |
362 |
Song | Instrumental |
1 YESU Musumba wange, Bulijjo ansanyusa; Yesu anjagala,ammanyi, Byonna-ebirungi abimpa; Ampita-erinnya lyange, Ambeera n'ekisa kye. 2 Ntambula nga sikyatya, Yesu Mukuumi wange; Mu biro-eby'enjala-andiisa, Era bwe nnumwa ennyonta, Antwala ku mabbali Ag'amazzi-amateefu. 3 Si kirungi nsanyuke? Si kirungi njaguze? Ne bwe ndifa talindeka Alintuusa ne mu ggulu, Eyo gye naabeeranga, Mu maaso ga Katonda.