390 |
391OBUDDE nga buyita |
392 |
Song | Instrumental |
1 OBUDDE nga buyita, Emmambya ng'esaze! -Omusana gwa Katonda Gunjakira leero Enzikiza-ekutte-eno, Naye bukedde eri, -Ekitiibwa gye kibeera: Eyo mu ggulu. 2 Katonda yatuyiza -Okwagala bwe kuli Okw'ensi nga kutono, Okw'eri kungi nnyo! Ekisa kye ky'atuwa, Mu kifo kye ky'atuwa, -Ekitiibwa gye kibeera Eyo mu ggulu. 3 -Ekigambo byange byonna, Ye-abinoongoseza, Era ne nnaku zange, Ziva mu kwagala, Kyenva mutendereza Eyankulembera Ekitiibwa gye kibeera Eyo mu ggulu. 4 Ndyebakira mu Yesu, Era ndizuukira, Ne mbeera-awamu naye Emirembe gyonna, Nnayimbanga-amatendo G'oyo eyampita, -Ekitiibwa gye kibeera Eyo mu ggulu.