Return to Index

391

392

Simanyi binabaawo

393
SongInstrumental
	

1 Simanyi binabaawo, Katonda abinkweka Ennaku ze ndiraba-edda Ankweka lwa kisa; N'essanyu ly'atusuubiza Lye lituwoomera Ng'enda gy'antwala yonna Mwesiga bwesizi! Sibuusabuusa so sitya; Kubanga ye amanyi. 2 Obutamanya obwo Bwe nsinga okwagala; Ankute n'omukono gwe Yesu-annywezeza Ampummuza buwummuza, Kubanga mwesiga. Ng'enda gy'antwala yonna Mwesiga bwesizi! Sibuusabuusa so sitya; Kubanga ye amanyi. 3 Ka ntambule ne Yesu Yonna gy'aba-antwala Awali ye mu nzikiza Nyinza okulaba Era muzibe-amwesiga Tayinza kubula. Ng'enda gy'antwala yonna Mwesiga bwesizi! Sibuusabuusa so sitya; Kubanga ye amanyi.