Return to Index

392

393

MU myaka si mingi

394
SongInstrumental
	

1 MU myaka si mingi, Ebbanga si ddene, Tulyebaka-awamu n'abo Abali mu ntaana. Kye nvudde nsaba ggwe Eyatufiirira, Teekateeka-omwoyo gwange, So tondekanga-eno 2 Obulamu bwaffe, Bunnatera okuggwaawo, Olunaku lusembera, Olw'omusango gwo. Mulokozi wange, Onziggyeko-ebibi, Onnaaze mu musaayi gwo, Onsembeze gy'oli. 3 Wakyasigaddeyo Ennaku si nnyingi, Naffe tulituuka eyo Gye katajja kabi. Mukama w'obulamu Ompolerezenga Nkwesiga okundokola Mu byonoono byonna. 4 Ewaffe si wano Naye-eri mu ggulu, Yesu-tumulindirira, Alituuka mangu. Mununuzi wange, Tunuulira bwe ndi, Siyinza-awatali ggwe Kugumiikiriza. 5 Kale tujjukire Ebyawandiikibwa, Kaakano ekiro kiyise, Emmambya esaze Ka twambule-ebibi Ebyatusanyusa, Ffe twambale-ebibi Ebyatusanyusa, Ffe twambale-obutukuvu, Mukama waffe ajja.