Return to Index

46

47

KINO kya kitalo nnyo

48
SongInstrumental
	

1 KINO kya kitalo nnyo Ekitalabwanga; Emirembe gizze nno Mu nsi yaffe muno. Ka tuyimbe nate, Ekitiibwa eri Katonda N'emirembe mu nsi. 2 Bayimbira Kabaka Mukama w'eggulu; Ensozi n'ebiwonvu Mwenna musanyuke: Fenna ka tuyimbe, Ekitiibwa eri Katonda N'emirembe mu nsi. 3 Entiisa y'omulabe Leero tekyaliwo; Yesu Mukama waffe Azaaliddwa leero: Tuyimbe n'essanyu, Ekitiibwa eri Katonda N'emirembe mu nsi.