Return to Index

47

48

YE Kigambo wa Katonda

49
SongInstrumental
	

1 YE Kigambo wa Katonda, Kristo Yesu-Omwana we, Ye n'afuuka omubiri N'abeerako gye tuli Ne tulaba omusana -Okumulisa-enzikisa Emirembe n'emirembe. 2 Eyatonda-ebintu byonna, Era awataali ye N'ekimu-ekyakolebwa; Obulamu bw'ali mu ye Atutukuza fenna; Emirembe n'emirembe. 3 Bwe baalagira banabbi -Ab'amagezi-edda n'edda, Mu kitabo-ekyawandiikibwa Esuubi lye ettukuvu, Eyazaalibwa-okubeera Omununuzi waffe; Emirembe n'emirembe. 4 Nga Kitaawe bwe yatuma; Yagutuusa-omulimu, Yayigiriza,yawonya, Yafa,-era yazuukira; Era alifuga-abantu Bonna nga Omuwanguzi; Emirembe n'emirembe. 5 Kibuyaga n'emisana, Ennimiro n'emigga; Ebbugumu n'omuzira, -Amayengo n'ebibira, -Obulamu n'ebizinga Binaasuuta-erinnya lye; Emirembe n'emirembe. 6 Mwebaze mmwe-eby'omu ggulu -Awamu n'ebyensi zonna, Mmwe muyimbe abalonde N'aboonoonyi muddemu Buli olulimi lwonna, Lwebaze ettendo lye ; Emirembe n'emirembe. 7 Oluyimba olukulu! Abakadde n'abato, Abalenzi n'abawala Banaayatula Yesu, Era banaatendereza; Ye Mulokozi waabwe, Emirembe n'emirembe.