Return to Index

50

51

GGWE kibuga Beesirekemu-

52
SongInstrumental
	

1 GGWE kibuga Beesirekemu- Tukutunuulire; Nga osiriikiridde nnyo Mu maaso g'eggulu. Mu nzikiza mu nguudo zo -Omusana gwo guzze; Byonna bye watyanga edda Biweddewo leero. 2 Malyamu-azadde Kristo Omutabaganya; Abantu mu butamanya Katonda-abaagala, Ggwe Kristo-,era ggwe Kabaka Tukusuute leero: Oweebwenga ekitiibwa Eyaleeta-essanyu. 3 Ayi Katonda nga watuwa Yesu Omwana wo, Kye kirabokyo-ekirungi Ekyava mu ggulu. Otuwe ffe aboonooyi Okumukkiriza, N'emyoyo emiwombeefu, Ayingire mu ffe. 4 Ggwe-Omwana Omutukuvu Jjangu-obeere mu ffe; Otuggyeko-ebibi byonna Ozaalibwe mu ffe. Tuwulira bamalayika Bayimba-eby'essanyu Eby'Omulokozi w'ensi Emanuweri waffe.