Return to Index

51

52

MU kisibo ky'ente-e Beesirekemu;

53
SongInstrumental
	

1 MU kisibo ky'ente-e Beesirekemu; Mwe yazazikibwa,Yesu Omwana, Ne mmunyeenye ku ggulu nga zaaka nnyo Omwana wa Katonda ng'azaaliddwa. 2 Yesu teyatya nte nga bwe zingoonga, N'abantu tebaamumanya,Omwana. Nze mmwagala Yesu eyazaalibwa, Abeerenga nange wonna we mbeera. 3 Beera kumpi nange,Omulokozi, Nkusaba-okusembera wano we ndi; Tusaasire fenna,abaana-abato Tulyoke tubeere naawe mu ggulu