Return to Index
53 |
54
NSANYUKIRA-oluyimba
|
55 |
Song | Instrumental |
|
|
1 NSANYUKIRA-oluyimba
Lwa bamalayika
Lwe baayimba okulanga
Okujja kwa Yesu.
Nze sirina bulungi,
Nnina-ebibi bingi;
Naye yakka ku lwange
Yesu Mulokozi.
2 Mmanyi Mukama waffe
Yafuuka omuto,
-Okulaga empisa ennungi
Ffe tuzikwatenga
Era bwe naafubanga
Okumufaanana
Ye tanneerabirenga,
Kubanga-anjagala.
3 Siyinza kumulaba
Kaakano n'amaaso
Naye ennyimba zange
Anaaziwwulira.
Bwe naamugonderanga,
Alintuusa-ewuwe
Ne mutenderezanga
Nga bwe kisaanidde.