Return to Index

58

59

EGGYE lyonna ery'omu ggulu

60
SongInstrumental
	

1 EGGYE lyonna ery'omu ggulu, Mwetooloole-ensi yonna; Mumuyimbire Kabaka Azaaliddwa-olwa leero. Katusuute Katwebaze Kabaka Azaliddwa 2 Kalr abagezigezi Mwanguwe okugenda, Nga munoonya Kristo waffe Kabaka w'ensi zonna. Katusuute Katwebaze Kabaka Azaliddwa 3 Abasumba nga bakuuma Ndiga zaabwe ekiro, Naye eri mu kiraalo Omusana nga gwaka. Katusuute Katwebaze Kabaka Azaliddwa 4 Laba azze mu yeekaali Naye nga tetumanyi; Simulaba naye ye-oyo Essuubi ly'ensi zonna. Katusuute Katwebaze Kabaka Azaliddwa 5 Kino kya kitalo ddala; Omwana oyo-omuto Alifuga ensi zonna Emirembe-egitaggwaawo- Katusuute Katwebaze Kabaka Azaliddwa